Akabonero Akasooka.

<< jjuuzi

ekiddako >>

  Obubonero Omusanvu series.

Embalaasi enjeru.


William Branham.

Soma akawunti mu...
Akabonero Akasooka.

Kati, mu ssuula eno eyookutaano, kwe kubembula Obubonero buno, era nga kati ky'Ekitabo ekisibiddwa Obubonero Omusanvu. Okusooka, twagala okusoma Akabonero Akasooka. Jjo olweggulo, okubaako we tukyesigamya akatonotono tukiraba, nti, Yokaana bwe yatunula n'alaba Ekitabo, nga kikyali mu mikono gya Nnanyini eyasooka, Katonda. Mujjukira engeri gye kyabulamu? Adamu ye yakibuza. Yafiirwa Ekitabo ky'Obulamu, olw'amagezi ga Setaani, n'afiirwa obusika bwe, Yafiirwa buli kintu; ate nga teri kkubo lya kununulibwa. Olwo, Katonda, ng'Ali mu kifaananyi ky'omuntu, Yakka, n'Abeera Omununuzi gye tuli, okutununula.

Era kati tukizuula nti, mu nnaku ezaayita, ebintu bino ebyali ebyama byakutubikkulirwa mu nnaku ez'oluvannyuma.

Kati era, tukiraba, ne mu kino, nti, amangu ddala nga Yokaana awulidde okulangirira kuno okwa - okw'Omununuzi ow'omu Lulyo okujja okubanja ebintu Bye, tewaali muntu n'omu yali asobola kukikola. Tewaali muntu mu Ggulu, tewaali muntu mu nsi, tewaali muntu wansi w'ensi. Tewaali n'omu yali asaanidde wadde okutunula ku Kitabo. Kati lowooza ku ekyo. Tewali muntu yenna, n'akatono, asaanidde wadde okukitunulako. Kati Yokaana kwe kutandika okukaaba. Yamanya nti, oh, olwo tewaaliwo mukisa gwonna gwa bununuzi.

Buli kimu kyali kigudde. Era amangu ddala tukiraba nti okukaaba, mangu ddala, kubanga ekimu ku biramu ebina kyalangirira, oba, manyanga abakadde. Omu ku -ku bakadde yagamba, “Yokaana, tokaaba, kubanga Empologoma y'ekika kya Yuda ewangudde,” Amakulu nti,“awangudde, era awambye.”

Yokaana, mu kukyuka, yalaba Mwana gwa Ndiga nga y'Avaayo. Ateekwa okuba nga yali Abunye omusaayi ng'Asaliddwa era ng'Afumitiddwa. Yali Attiddwa, e... Yagamba, nti, “Omwana gw'Endiga Oyo eyali atttiddwa.” Nti, era, yali Akyaliko omusaayi; oba wasalako ku mwana gw'endiga n'o - n'ogutta mu buli ngeri, Omwana gw'Endiga Oyo bwe yali. Yatemebwatemebw aku musaalaba, amafumu mu mbiriizi, emisumaali mu bibatu ne mu bigere, n'amaggwa mu bisige. Yali mu mbeera eyennyamiza. Kati Omwana gw'Endiga Ono yavaayo n'ajja eri Eyali Atudde ku Nnamulondo Eyali Akutte Ekyapa kyonna ekijjuvu eky'Obununuzi. Era Omwana gw'Endiga n'agenda n'Atoola Ekitabo okuva mu mukono gw'Oyo atudde ku Nnamulondo, era n'Akwata n'Abembula Obubonero era n'Abikkula Ekitabo.

Kati olwo ekyo bwe kyabaawo, tulaba wateekwa okuba nti wajjawo ekintu eky'ekitalo mu Ggulu, kubanga abakadde n'abakadde amakumi abiri mu-àbana, ebiramu na buli kintu mu Ggulu byaleekaana, “Osaanidde”, era wano Bamalayika bajja ne bafuka ebibya by'essaala z'abatukuvu. Abatukuvu wansi w'ekyoto baaleekaana, “Osaanidde Ggwe, Ayi Omwana gw'Endiga, kubanga Otununudde, era kaakati Otufudde bakabaka ne bakabona, era tujja kufuga ku nsi.” Oh, abange! Era bwe kityo bwe kiri bwe Yabikkula Ekitabo ekyo.

Olaba, mazima Ekitabo kyateekebwateekebwa era ne kiwandiikibwa nga n'emisingi gy'ensi teginnabaawo. Ekitabo kino, Bayibuli, mu butuufu yawandiikibwa nga n'emisingi gy'ensi teginnabaawo. Era Kristo, ng'Omwana gw'Endiga, yattibwa ng'emisingi gy'ensi teginnabaawo. Era a- abo abali mu Omugole We, amannya gaabwe gaatekebwa mu Kitabo eky'Obulamu eky'Omwana gw'Endiga ng'emisingi gy'ensi teginnabaawo. Naye, kibadde kisibiddwako, era kati kibikkuddwa; amannya g'abo abali omwo, byonna ebibakwatako, era kintu kya kitalo. Kati Yokaana, ekyo bwe yakiraba, ye -yagamba, “Buli kimu mu Ggulu, buli kimu wansi w'ensi...” Buli kintu kyamuwulira ng'agamba, “Amiina, Ekitiibwa, n'ettendo!” Yali ddala mu kaseera kalungi, era, kubanga, “Omwana gw'Eddiga yali Asaanidde.”

Era kati Omwana gw'Endiga Ayimiridde. Kati, leero, nga tuyingira mu ssuula eno eyoomukaaga, Alina Ekitabo mu mikono Gye, era Atandika okukibikkula. Era, oh, olwaleero nandibeeredde ddala... Nsuubira nti abantu ba mwoyo. Nandibadde nkikolako ensobi nnene, naye, essaawa zibadde nga mukaaga olwaleero, Omwoyo Omutukuvu Yazze mu kisenge era n'Angolola ku kintu kye nabadde ntegeka okwogera.

Nabadde nkiggya mu byawandiikibwa eby'edda. Saabaddeko kye nkimanyiiko. Simanyi Kabonero kakubiri kye kategeeza, n'akamu kati. Naye nina ebiwandiiko eby'edda ku bintu bye nayogerako emyaka mitono egiyise, era nabiwandiika. Ate byonna ne mbikunngaanya wamu, nga mbiggya mu bya Dr. Smith, n'abasomesa bangi, ab'amaanyi abatutumufu be na - gye nnabiggya. Era bonna bakkiriza batyo, n'olw'ekyo nakiwandiika. Nali ntegeka okugamba, “Kale, kaakati nja kukiyiga nga neesigamye ku nsonga eyo.” Kati awo, nga ku ssaawa mukaaga ogw'emisana, Omwoyo Omutukuvu amangu ago Yazze mu kisenge, ekintu kyonna ne kimbikkulirwa, era ky'ekyo, olaba, ekya - eky'Akabonero kano Akasooka nga kabikkulwa.

Nkakasiza ddala nga bwennyimiridde wano leero, nti gano ge Mazima g'Enjiri gye nngenda okwogera wano. Nze - mmanyi nti bwe kiri. Kubanga, singa okubikkulirwa kukontana n'Ekigambo, olwo tekuba kubikkulirwa. Era, omanyi, waliwo ebintu ebimu ebirabika nga bituufu ddala, so nga si bwe kiri. Olaba? Kifaanana nga kyo, naye nga si kyo.

Kaakati, tulaba, ng'Omwana gw'Endiga Alina Ekitabo, kati. Era wano mu ssuula eyoomukaaga tusoma:

Ne ndaba Omwana gw'endiga bwe yabembula ku bubonero omusanvu ko akamu, ne mpulira, ekimu ku biramu ebina nga kyogera, ng'eddoboozi ery'okubwatuka nti, Jjangu olabe.
Ne ndaba, era laba embalaasi enjeru: n'oyo eyali atuddeko ng'alina omutego; n'aweebwa engule: n'agenda nga awangula, era awangule.

Kati, ako ke Kabonero Akasooka. Ako ke tugendako, olw'ekisa kya Katonda, tukannyonnyole leero. Mu ngeri esinga obulungi... Era nkiraba nti, omuntu okugezaako ekyo okukinnyonnyola, ekyo, kuba kwesuula mu katyabaga singa oba tomanyi ky'okola. Mukiraba? N'olw'ekyo bwe kinzijira olw'okubikkulirwa, nja kubabuulira. Oba nkifunye lwa ndowooza yange, olwo nja - ekyo nja kukibagamba nga sinnakyogerako. Naye nkikakasiza ddala, nga bwennyimiridde wano leero, nti kizze gyendi, nga kipya olwaleero, okuva eri Omuyinza wa byonna. Si nkola yange kumala googera bintu bwe ntyo, bwe kiba ngakikwata ku kitundu kino eky'Ebyawandiikibwa. Nze- ndi... Nsuubira mumanyi kye njogerako kati, mukiraba. Kaakati, omanyi, toyinza kwogera bintu... Singa wabaawo ekintu ekirina okubaawo wano nga tekinnabaawo, ggwe -tosobola kukyogerako okutuusa lwe wabaawo ekikiteekawo awo. Mukiraba? Musoma? Muliko kye muwuliriza? Olaba?

Kati, Omuzingo gw'Ekitabo, eky'Obubonero Omusanvu, kaakati gubembulwa Omwana gw'Endiga. Tusemberera ekifo ekyo leero. Katonda, Atubeere. Obubonero nga bubembulwa era nga busumululwa, ebyama ebiri mu Kitabo bibikkulwa. Kati, mulaba, Kino Kitabo ekisibeko. Kati, ekyo tukikkiriza. Si bwe kiri? [Ekibiina kiddamu, “Amiina.”- Omuk.] Tukkiriza nti Ekitabo kikyali kisibeko n'envumbo. Kaakati, mu kusooka kino twali tetukimanyi, naye bwe kiri. Kisibiddwa n'Obubonero Musanvu. Kwe kugamba, ku ngulu ku Kitabo, Ekitabo kisibiddwako Obubonero Musanvu.

Bwe tuba twogera ku kitabo eky'engeri eno, kyandibadde nga addira akakoba n'okisiba, enkoba musanvu. [Ow'oluganda Branham alaga ekitabo ng'annyonnyola - Omuk.] Naye si ky'ekitabo eky'ekika kino. Guba muzingo. Olwo omuzingo bwe guzingululwa, ogwo gumu; ate munda waagwo mulimu omuzingo ogwokubiri. Era wano wennyini kyogera ekyo kye kiri, naye kyama. Naye, ffe, tukitunuddemu; naye, mujjukire, Ekitabo kisibeko, era Ekitabo ky'ekitabo ky'ekyama, eky'okubikkulirwa. Kwe kubikkulirwa kwa Yesu Kristo, mulaba, Ekitabo ky'okubikkulirwa. Era kati mumanyi, okuyita mu mirembe, abantu bateganye era bagezezzaako okukinoonyereza. Ffenna twagezaako.

-----
Olwo, Omwana gw'Endiga bwe Yatoola Ekitabo n'Abembula Akabonero ako Akasooka, Katonda Yayogera nga Ayima ku Nnamulondo Ye Etaggwaawo, n'Ayogera Akabonero ako, kye kagenda okubikkula. Naye bwe kyaleetebwa mu maaso ga Yokaana, kyali mu kifaananyi. Yokaana bwe yakiraba, kyali kikyali kyama. Lwaki? Kyali ne mu kiseera ekyo tekinnabikkulwa. Tekiyinza kubikkulwa okutuusa ekyo ky'agambye wano, “mu kiseera eky'enkomerero.” Naye kyajjira mu ngeri ya kifaananyi.

Kati olwo, ne“kibwatuka.” Jjukira, okubwatuka kw'eddoboozi ng'eggulu lye Ddoboozi lya Katonda. Ekyo Bayibuli ky'egamba, olaba, “okubwatuka ng'okw'eggulu.” Baalowooza nti eggulu lye libwatuse, naye Yali Katonda. Ye Yakitegeera, kubanga kyamubikkulirwa. Olaba? Kwali kubwatuka. Weetegereze, Akabonero Akasooka kabikkulwa. Akabonero Akasooka, bwe kaabikkulwa mu ngeri ya kifaananyi, kyabwatuka. Kati ate kiri kitya nga kabembuddwa nga ddala bwe kali?

-----
Kati, mwetegereze. Kristo Taddamu kulabika wantu wonna, olaba, okuva mu kiseera ekyo. wabula era Naye Ali ku mbalaasi njeru. Oba omuntu ono avuga mbalaasi njeru, ageegeenya bugeegeenya Kristo. Olaba? Ekyo mukifunye? [Ekibiina kiddamu “Amiina.” - Omuk.] Weetegereze, avuga embalaasi njeru talina linnya lyonna. Ayinza okukozesa ebitiibwa bibiri oba bisatu, olaba, naye talina linnya lyonna. Naye Kristo Alina Erinnya! Linnya ki? Ekigambo kya Katonda. Ekyo kye liri. “Ku lubereberye waaliwo Kigambo, Kigambo n'aba awali Katonda, Kigambo n'aba Katonda. Era Kigambo, n'afuuka omubiri.” Olaba?

Omuvuzi talina linnya, kyokka Ye Kristo ayitibwa “Kigambo kya Katonda.” Ekyo ky'Ali. Bw'Atyo bw'Ayitibwa. Kati alina Erinnya omuntu yenna ly'atamanyi; wabula ayitibwa, “Kigambo kya Katonda.” Omuntu ono talina linnya, olaba, naye ali ku mbalaasi enjeru.
Omuvuzi talina busaale bwa mutego gwe. Wakirabye? Yalina omutego, naye teri kyogeddwa ku busaale, kale ateekwa kuba muguumaaza. Ky'ekyo. Oba oli awo abwatuka nnyo, naye si eraddu. Naye ojja kukiraba, Kristo Alina byombi eraddu, n'okubwatuka, kubanga mu kamwa Ke muvaamu ekitala eky'obwogi obubiri, era atema amawanga. Omusajja ono tasobola kubaako ky'akuba, olaba, munnanfuusi. Agenda, ng'ali ku mbalaasi enjeru, agenda okuwangula.

Kristo Yalina ekitala eky'obwogi, era, wekkaanye, kiva mu kamwa Ke. Ekigambo Ekiramu, nga ekyo, kye Kigambo kya Katonda ekibikkuddwa eri abaweereza Be. Nga bwe Yagamba Musa, “Genda,oyimirire awo, okwate omuggo ogwo; oyite ensowera,”era ensowera zajja. Mazima ddala. Buli kye Yayogera, Yakikola; era kyatuukirira, Ekigambo kya Katonda Ekiramu. Katonda ne Ekigambo Kye Muntu y'Omu. Katonda kye Kigambo.
Olwo omuvuzi ono atategeerekeka ow'omulembe gw'ekkanisa ogusooka ye ani? Ye ani? Katukirowoozeko. Omuvuzi ono atategeerekeka y'ani atandikira mu mulembe ogusooka ogw'ekkanisa n'agendera ddala ng'avuga okutuukira ddala mu Butakoma, agenda kutuuka ku nkomerero.

Akabonero akookubiri katandika era ne kagendera ddala ne kayitawo okutuuka ku nkomerero. Akabonero akookusatu katandika kayitiramu ddala okutuuka ku nkomerero. Akookuna, Akookutaano, Akoomukaaga, Akoomusanvu; buli kamu ku bwo, kamaliririza wano ku nkomerero. Kaakati ku nkomerero, Ebitabo bino ebyazingibwako ekiseera kino kyonna, n'ebyama bino ebibirimu, bibembuddwa. Awo nno ekyama kyeyoleka, okulaba kye kiri. Naye, mu butuufu, byatandikira mu mulembe gw'ekkanisa ogusooka, kubanga ekkanisa, omulembe gw'ekkanisa ogusooka, gwafuna Obubaka nga buno. [Ow'oluganda Branham akonkona ku kituuti emirundi esatu -omuk.]

“Omuvuzi w'embalaasi enjeru yafuluma.” Olaba? Ye ani oyo? Wa kitalo mu maanyi ge ag'okuwangula. Muntu wa kitalo mu maanyi ge agawangula. Mwagala mbabuulire oyo kyali? Ye mulabe wa Kristo. Ekyo ddala kyali. Kati, kubanga, olaba, mulabe wa Kristo; oyo Yesu gwe Yagamba, nti, “Byombi biriba bifaanana nnyo okutuusa lwe kiribuzaabuza n'omulonde yennyini, (Omugole) singa kyali kiyinzika.” Mulabe wa Kristo, gwe mwoyo omulabe wa Kristo.

Soma akawunti mu... Akabonero Akasooka.


  Bayibuli egamba...

Ne ndaba mu mukono ogwa ddyo ogw'oyo eyali atudde ku ntebe ekitabo ekiwandiikiddwa munda ne kungulu, ekisibiddwa ennyo obubonero omusanvu.

Ne ndaba malayika ow'amaanyi ng'abuulira n'eddoboozi ddene nti Ani asaanidde okwanjuluza ekitabo n'okubembula obubonero bwakyo omusanvu?

Ne watabaawo mu ggulu newakubadde ku nsi newakubadde wansi w'ensi, eyayinza okwanjuluza ekitabo, newakubadde okukitunuulira.

Nange ne nkaaba nnyo amaziga, kubanga tewaalabika eyasaanira okwanjuluza ekitabo, newakubadde okukitunuulira:

Okubikkulirwa 5:1-4


Ekyama kya Kristo.
Series

Omukutu
gw'amawulire
mu Olungereza.

Olusozi Sinaayi. Meriba.

Okubikkulirwa.
Series.

Enjiri ya Yesu Kristo.

Yesu yafiirira ebibi byo.

Okubatiza mu mazzi.

 

Ebikolwa bya nnabbi.

 

Ekitiibwa kya
Katonda (Shekinah).

Okukwakkulibwa.

Katonda ne Sayansi.
Sodoma ne Ggomola.

Bire eby'eggulu.

Empagi y’omuliro.

Okuzuukira series.

Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa.

Eryato lya Nuuwa.

 

Enjigiriza enkulu
mu bubaka.

Oyo Eyakulembera.

Katonda gwe Musana.

Okubikkulirwa kwa
Yesu Kristo.

Kigambo Ekiramu
series.

Kiseera eky’Enkomerero.

Obubonero Omusanvu.

Katonda n’Ebyafaayo
series Index. Danyeri.

Okutambula kw’Ekikristaayo.

Omuti Ogw’Obulamu.
Ezzadde ly'Omusota.

Ensinza ya Mwana
ne Nnyina.

Omukazi oyo
Yezeberi.

Enjigiriza ya
Banikolayiti.

Malayika Alabika.

Yakakasizza kya
Nnabbi.

Enjigiriza ya Balamu.

 

Okwolesebwa okw’oku
kizinga Patumo.

Kristo Ebweru w’Ekkanisa.

 

Obubaka eri Omulembe
gwa Lawodikiya.
Okufumbiriganwa
n’okwawukana.

Okufa.
Leka ntunule okusukka
Olutimbe lw'ebiseera.

Oluganda Omubaka.

Nywa ku kifaananyi okuwanula ekifaananyi ekijjuvu oba PDF.


Ebikolwa bya Nabbi.

(PDFs)

Okufumbiriganwa
N’okwawukana.
(PDF)

William Branham
Life Story.

(PDF Olungereeza)

How the Angel came
to me.

(PDF Olungereeza)

As the Eagle
Stireth her nest.

(PDF Olungereeza)

Essuula 14
- Sabino Canyon

(PDF)


Ekifo eky'obubaka... Londa olulimi lwo era owanule obubaka obw’obwereere okuva eri Ow’oluganda Branham.