Emyoyo egiri mu kkomera kaakano.

<< jjuuzi

ekiddako >>

  Kigambo Ekiramu series.

Emyoyo egiri mu kkomera kaakano.


William Branham.

Soma akawunti mu...
Emyoyo egiri mu kkomera kaakano.

Olunaku olumu nnali eyo nga ngigga, ekirabika okuba ekikula kyange eky'okubiri, njagala okuyigga. Nnali bweru nga ngigga n'akalenzi ka Jim Poole, omwana omulungi. Kye ndowooza nti mutabani we ajja wano ku kkanisa, ka Jim, ne famire y'abantu abalungi. Mbamanyi ba Poole. Nze ne Jimmy twasulanga ffenna era nga tubeera ffenna okuva nga tuli balenzi bato mu ssomero. Twali twesingako emyaka mukaaga. Jimmy n'aleka emmundu ye n'enkuba mu magulu gombi, ku lusegere lwange ddala, n'akamundu akatono. Nnatwalibwa mu ddwaliro, nga ngalamidde awo nfa, nga mu nnaku ezo tewali ddagala lya penisiriini wadde ekintu kyonna. Era kaakati, baali banjalidde essuuka nga y'amasanda, era mmanyi nga mu kiro ekyo... Baali bakunnongoosa enkeera ku makya. Bwe bantwala butwazi ne balongoosa ekiwundu, n'ebinyama ebinene ne babisalako nga bakozesa makansi, nga nnalina okunyweza emikono gw'omusajja. Era... nga baalina okukwata emikono gyange okuguggya ku kisekeseke kye, okutuusa nga bamalirizza. Nnaleekaana ne nkaaba nga nneenywezezza bwe nti nga bo bwe basalako ekitundu ky'okugulu ekyo. Nnalina emyaka kkumi n'ena, nga ndi mulenzi.

Ekiro ekyo nnagezaako okugenda okwebaka, ne ba... Nnazuukuka, ne wabaawo ekitonnya. Era guuguno gwali musaayi, kumpi kwenkana kitundu ky'akalobo kalamba, bwe nsuubira, nga guvudde mu misuwa. Era baali... Baankuba ekifaananyi mu ka ttivi ne bagamba nti essasi lyali likubye kumpi n'omusuwa ogwo ogufulumya omusaayi okuva ku mutima, ku njuuyi zombi, ng'akatu katono nnyo kasobola okugukutulamu bibiri, olwo nga nnanditandise kuvaamu musaayi. “Kale,” Nnalowooza nti, “eno y'enkomerero yange.” Ne ndyoka nteeka emikono gyange wano bwenti ate ne ngiwanika waggulu, ng'omusaayi gukulukutira ku mikono gyange, gwali musaayi gwange gwennyini gwe nnali ngalamiddemu. Nnayita, ne nkuba akade. Omujjanjabi n'ajja, kye yakola kwali kugukaza na ttawulo kubanga tewali kye baali basobola kukola.

Amakya agaddako, mu mbeera ey'okuggwaamu amaanyi, baali tebassaako musaayi mu nnaku ezo, nga bwe mumanyi, ne bannongoosa bulongoosa. Baampa eddagala erikkakkanya obulumi. Era bwe... eddagala ery'enkola enkadde, ndowooza mumujjukira, lye lyali likendeeza obulumi. Nga mmaze okuweebwa eddagala eryo, bwe nnafulumayo, nga kirina kuntwalira essaawa munaana. Nga baalina kumpa lingiko, ne balowooza nga nnali sirisobola... nga ssiisobole kuzuukuka. Nga nabo tebajja kusobola kunzuukusa.

-----
Bwe bamala okunteekako eddagala erikkakkanya obulumi, waaliwo ekyabaawo gye ndi. Nkikkirizzanga okuba nga kwali kwolesebwa. Kuba nnali munafu nnyo era nga ndi... Baalowooza nti enda kufa. Omukazi yali akaaba. Bwe nnazibula amaaso, nga nsobola okulaba, nga mmuwulira ayogera, ate ne nzirayo mu ttulo, ne nzuukuka, emirundi ebiri oba esatu. Olwo ne ndyoka nfuna okwolesebwa. Era nnalina... Nga wayiseewo emyezi nga musanvu, nnalina okugenda banzigyemu ekisosonkole ky'akabundu n'ebiwero by'ebigoye ebijjudde giriisi eby'okuyigga, mu magulu gange; omusawo byataggyamu. Kale omusaayi gwange mwalimu engeri y'obutwa, amagulu gange gonna gaali gazimbye, obuzimbu bwa mirundi ng'ebiri, nga baagala na kugaggyako gombi nga mu bbunwe. Nze namala...ne amba nti, “Nedda,” yambusaako osalire wagguluko wano.“ Mulabe nga sisobola kugumiikiriza. Ekyasembayo, Dokita Reeder ne Dokita Pirtle, okuva e Louisville, ne bannongoosa era ne basala ne bagaggyamu; n'olwaleero nnina amagulu amalungi, olw'ekisa kya Katonda.

-----
Kaakati mu kiseera kino, nga nfunye okwolesebwa kuno, nga bwe ndowooza nti, nna-nnali mpise mu bulamu buno okutuuka mu kubonaabona. Nga wayise emyaka musanvu, wano ku Clark County Memorial Hospital, we nnafunira okulongoosebwa okw'okubiri. Era mu kiseera ekyo, bwe nnafulumayo, Nnalowooza nti nnali nnyimiridde Ebugwanjuba. Ne nfuna okwolesebwa okulala. Era nga waaliwo omusaalaba omunene ogwa zzaabu mu bwengula nga n'Ekitiibwa kya Katonda kiva ku musaalaba ogwo. Ne ndyoka nnyimirira ng'emikono gyange giri bwe giti nga n'Ekitiibwa nga kigwa mu kifuba kyange. Era nze... Okwolesebwa ne nkuvaako. Nga kitange atudde awo antunuulidde, okwolesebwa bwe kwajjira.

Mbaddenga mpulira, mmwe... Abantu bonna abammanyi emyaka gino gyonna, bamanyi nga mbadde njagalanga okugenda Ebugwanjuba. Mumanyi engeri gye kirimu. Bulijjo kibaddenga kintu eyo Ebugwanjuba. Naye olw'okuba munnabwengula olumu yaamba, ekintu ky'ekimu nti nnina okugenda Ebugwanjuba... Emmunyeenye, bwe zissukka enkulungo zaazo na buli kimu, nga nnazaalibwa wansi w'akabonero ako, nga siribeera muwanguzi Ebuvanjuba; Nga nnina okugenda Ebugwanjuba. Era omwaka oguwedde nnasitula ne enda Ebugwanjuba, okutuukiriza ekigendererwa ky'obulamu bwange kye kibaddenga, mulaba, okukikola.

-----
Okwolesebwa nga kumaze okunzijira, nga ndi munafu nnyo, nga nfiiriddwa omusaayi ogwo gwonna, era ne enda... Nnalowooza nga ndi mu kubbira mu Butaggwaawo obutakoma. Bangi ku mmwe mumpulidde, nga kino nkyogera nga tekinnabaawo, nga nzika mu Butaggwaawo obutakoma. Mu kusooka nnali mpitamu ng'ali mu bire, ate nzuuyo mu kizikiza, nga bwe nneyongera okukka wansi, wansi, wansi. Kye mulina okusooka okumanya, nnatuuka mu kifo ky'abaabula, era ne ndyoka ndeekanira eyo. Ne ntunula, nga buli kimu eyo kiri awo, nga tekirina musingi gwonna. Nga sikoma kukkirira. Nga kirabika ng'Obutaggwaawo, gye nnali enda okugwa. Nga tewali kukoma kwonna.

Nga byali bya njawulo ku kwolesebwa kwe nnafuna wano ebbanga ssi ddene, okubeera n'abantu mu Kitiibwa, byawukanira ddala! Naye mu kino, bwe nnali nzikirira, nnatuuka ne nkowoola kitange, kubanga, olw'okubeera omwana omuto, ekyo nga kye nsobola okukola. Ne nkaabira kitange, nga kitange taliiyo. Ne nkaabira mmange, “Wabeewo ankwata!” Nga tewali maama eyo. Nga nneeyongera kukkirira. Ne ndyoka nkaabira Katonda. Nga tewaliiyo Katonda eyo. Nga tewali kiriyo eyo.

Nga wayise akaseera, nnaawulira eddoboozi erikyasinzeeyo okuba ery'okukungubaga lye nnali mpuliddeko, kwe kwali okwewulira okubi ennyo okukyasinzeeyo. Nga tewali kkubo lyonna... n'okwokya kw'omuliro ogwa bulijjo nga kulungi okusinga ku kino ekyali eno. Kati, okwolesebwa kuno tekubangako kukyamu. Era kwali okumu kukuwulira obubi okukyasinzeeyo kwe nnali mbadde nakwo, era kyali kitya...

Nnawulira okuleekaana, eddoboozi ng'eryekintu ekitiisa ennyo. Era bwe kyaba kityo, okutunula nga bakazi be bajja. Nga balina ebirangi ebyakiragala, nga nsobola okulaba amaaso gaabwe, nga wansi w'ago basizeeko ebyakiragala. N'amaaso gaabwe nga galabika gaguddemu ng'abakazi leero bwe basiiga ebirangi amaaso gaabwe, bwe gatyo, amaaso gaabwe awamu n'obwenyi. Nga bagenda nti, “Ooh, ooh, ooh, ooh!” Oh abange!

Nnaleekaana nti, “Ai Katonda, Nsaasira. Ba n'okusaasira, Ai Katonda! Oli ludda wa? Bw'ononzikiriza ne nzirayo okuba omulamu nate, nkusuubiza okubeera omulenzi omulungi.” Kale, ekyo ky'ekintu, kye nnali nsobola okwogera. Kaakati, Katonda Amanyi, ne ku Lunaku olw'Omusango Agenda kugunsalira olw'ekyo kye njogedde. Ekyo kye Nnayogera nti, “Mukama ndeka nzireyo, nja kubeera omulenzi omulungi.”

We bankubira essasi, nnali nnimbye, nga nkoze kumpi buli kintu, era ekintu kyokka kye njogera... nsobola n'okukirongoosa nga bwe ndi wano ddala. Bwe nnatunula ne ndaba nga nnalinga kyenkana omuntu ayuziddwamu bibiri, kye kyanjogeza nti, “Katonda wange nsaasira. Okimanyi nga siyendangako.” Ekyo kyokka nga kye nsobola okugamba Katonda. Nnali ssikkirizanga kisonyiwo Kye n'ebintu bino byonna. Nga njogera bwogezi, nga kye nsobola okwogera kiri nti, “Siyendangako.”

Olwo ne balyoka banzigyayo omwo. Era olwo ne nkaaba nti, “Katonda wange nsaasira. Nja kubeera mulenzi mulungi, singa Onaandeka ne nzirayo,” kuba nnali mmanyi nga waliyo Katonda awantu awamu. N'olwekyo nnyamba, ebitonde ebyo byonna ebikoowu, nga biri awo, nze nnali mupya eyakatuuka. Ky'ekintu ekyali kitiisa ennyo, ekibi, n'okuwulira embeera etaliimu bwa Katonda omwo...Gaalabika ng'amaaso amanene, nga galiko obukoowekoowe obunene bwe butyo, nga guddemu bwe gatyo, nga geekulungula nga aga kkappa, bwe gati; n'ekintu ekya kiragalalagala ekiringa ekiriiriddwa ekirwadde oba ekintu ekimu. Era baali nga bakuba ebiwoobe nga bwe bagenda bakola nti, “Ooh, ooh, ooh!” Oh, nga yali nneewulira! Kati nze bwe...

Mu kaseera mpawekaaga, nnali nkomyewo mu bulamu obwa bulijjo nate. Ekintu ekyo kintawanyizza. Nnalowooza nti, “Oh, leka kibe nti ssirigenda mu kifo ng'ekyo nate; tewali na mwana wa muntu yandyetaaze kugenda mu kifo ekifaanana bwe kityo.” Nga wayise emyezi musanvu, nnafuna okwolesebwa nga nnyimiridde Ebugwanjuba, era nga ndaba omusaalaba ogwo ogwa zzaabu nga gukka ku nze okuva waggulu. Olwo nnamanya nga waliwo awantu ekifo ky'abantu ab'okuzikirira. awantu awamu.

Kaakati, nnali sikyetegerezanga nnyo okutuusa jjo lyabalamu wiiki nga nnya eziyise. Omukyala... Sikirowoozangako mu ngeri eno. Wiiki nga nnya eziyise, nze ne mukyala wange twakkirira mu Tucson, okugulayo kko ebintu. Era bwe twali eyo nga tutudde... N'omukyala, twayingira munda nga tukka amadaala, waaliyo abalenzi abeeyisa ng'abawala nga nabo enviiri zaabwe bazikoze, nga bwe mumanyi, ng'abakazi bwe bakolera ddala, n'agakomo gabalebeetera mu maaso, nga bambadde n'empale zino ddala, mu ngeri bw'etyo, ndowoza abadigize oba kye muyinza okubayita.

Kale ne nnyambuka waggulu ku madaala ne ntuula wansi. Bwe nnakikola, wajja lifuti etambuza abantu okulinnyalinnya amadaala mu bizimbe ebiwanvu, kyali mu tterekero lya J.C Penny, lifuti eyo nga ereeta abantu waggulu. Kale, n'okulwala nnalwala mu lubuto, bwe nnalaba abakazi abo nga bazze waggulu awo; abato, n'abakulu abateefirayo ku balala, ab'enkanyanya, abavubuka, na buli ngeri, nga bambadde obupale obumpi obutono; emibiri gyabwe egigwagwawaziddwa, n'abakazi abambadde mu ngeri y'obuseegu, n'emitwe gyabwe egyo eminene bwe gityo, nga baabano baggusse. Omu n'ava mu lifuti eyo erinnyisa abantu amadaala, ng'ajja waggulu bw'atyo, awo we nnali ntudde emabega awo mu katebe, ng'omutwe gwange ngukutamizzaako.

Ne nkyuka ne ntunula. Omu ku baali ku madaala nga bambuka yali agamba nti, “Ooh,” ng'ayogera mu Lufalansa, eri omukazi omulala. Yali mukazi kyeruppe eyali ayogera eri omukazi Omufalansa. Bwe nnatunula, [ow'Oluganda Branham akuba entoli -Omuk.] omulundi gumu ne nkyusibwa. Ekyo awo nnali nkirabyeko. Amaaso ge, mumanyi abakazi bwe bakola ennaku zino, basiiga amaaso gaabwe ebirangi, gye buvuddeko wano katono, nga kkappa, mumanyi bwe beekola mu ngeri bw'eti, nga bambadde gaalubindi z'ekipuusi bwe bati na buli kimu, nga bwe mumanyi n'amaaso gonna waggulu bwe gati, n'ekintu ekyo ekyakiragalalagala wansi w'amaaso gaabwe. Awo we waali ekintu ekyo nga kye nnalaba nga nkyali mwana muto. Omukazi nga Wuuyo awo ddala nga bali bennyini. Ne nsannyalala nnyo nzenna, ne ntandika okutunulatunula awo, era waaliwo abantu abo abatolotooma, nga bwe mumanyi, nga bagenda mu maaso okulamuza emiwendo gy'ebintu mu kizimbe.

Ne kirabika ng'eyakyusibwamu kko okumala akaseera. Ne ntunula ne ndowooza nti, “Ekyo kye nnalabira ddala mu ggeyeena.” Nga baabo bali awo, ekirwadde ekyo. Nnalowooza nti olw'okuba baali mu ggeyeena kye kyabaleetera okuba batyo, n'ekintu ekyakiragala alimu-bbululu wansi w'amaaso gaabwe. Era abakazi bano nga baabano wano beesiize ebirangi ebyakiragala alimu-bbululu ddala ng'okwolesebwa okwo bwe kwali kugambye emyaka ng'amakumi ana egiyise.

Mulabe, emyaka ng'amakumi ana egiyise, nga bwe kibaddenga. Ndi wa myaka ataano mu ena; nnalina kkumi n'ena. Kale emyaka ng'amakumi ana egiyise, nze... Era ekyo kye... Ogwo gwe muwendo, mu buli ngeri, ogw'omusango, mulaba.

-----
Ku olwo nnalowooza, nga bwe nnageetegereza amaaso g'abakazi nga gatunula ng'amalwadde. Waaliwo Abomu nsi ya Spain, Abafalansa, n'Abayindi, ne bakyeruppe n'abalala bonna wamu, wabula emitwe egyo eminene, nga bwe mumanyi, giriko entuutuuli y'enviiri ensusumavu, nga bwe batera okuzisanirira nga bazizizza emabega, nga zisunsumadde waggulu. Mumanyi, mumanyi engeri gye bazikolamu, nga bazikuttemu nga bwe Batera okukikola. Era awo amaaso gaabwe ago agatunula ng'amalwadde, nga bagasiize ebirangi, nga gekulungula muli ng'agakkappa. Nga boogera, nga nange ndi awo nate, nnyimiridde mu tterekero lya J.C Penny, nga nzizeeyo nate mu ggeyeena.

Nze-Nze-nnatya nnyo. Ne ndowooza nti, “Mukama, mazima ssinnaba kufa, era Oanyizza okujja mu kifo kino oluvannyuma lwa byonna.” Nga baabo awo, nga bakola... awo wonna bwe bati, nga bwe baali mu kwolesebwa okwo, nga mazima osobola okukiwulirira ddala n'amatu go, nga bwe mumanyi. Ng'oluyoogaano lw'abantu nga lugenda mu maaso, n'abakazi abambukira mu lifuti nga batambulatambula awo, era batyo, nti, “Ooh, ooh!” Waaliwo ago amaaso agatunula obulala n'olwakiragalalagala ng'abakungubaga.

Soma akawunti mu...
Emyoyo egiri mu kkomera kaakano.


Ekyama kya Kristo.
Series

Omukutu
gw'amawulire
mu Olungereza.

Olusozi Sinaayi. Meriba.

Okubikkulirwa.
Series.

Enjiri ya Yesu Kristo.

Yesu yafiirira ebibi byo.

Okubatiza mu mazzi.

 

Ebikolwa bya nnabbi.

 

Ekitiibwa kya
Katonda (Shekinah).

Okukwakkulibwa.

Katonda ne Sayansi.
Sodoma ne Ggomola.

Bire eby'eggulu.

Empagi y’omuliro.

Okuzuukira series.

Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa.

Eryato lya Nuuwa.

 

Enjigiriza enkulu
mu bubaka.

Oyo Eyakulembera.

Katonda gwe Musana.

Okubikkulirwa kwa
Yesu Kristo.

Kigambo Ekiramu
series.

Kiseera eky’Enkomerero.

Obubonero Omusanvu.

Katonda n’Ebyafaayo
series Index. Danyeri.

Okutambula kw’Ekikristaayo.

Omuti Ogw’Obulamu.
Ezzadde ly'Omusota.

Ensinza ya Mwana
ne Nnyina.

Omukazi oyo
Yezeberi.

Enjigiriza ya
Banikolayiti.

Malayika Alabika.

Yakakasizza kya
Nnabbi.

Enjigiriza ya Balamu.

 

Okwolesebwa okw’oku
kizinga Patumo.

Kristo Ebweru w’Ekkanisa.

 

Obubaka eri Omulembe
gwa Lawodikiya.
Okufumbiriganwa
n’okwawukana.

Okufa.
Leka ntunule okusukka
Olutimbe lw'ebiseera.

Oluganda Omubaka.

  Bayibuli egamba...

Era ng'abantu bwe baterekerwa okufa omulundi ogumu, oluvannyuma lw'okwo musango;

Abaebbulaniya 9:27


Oh..., tewali na
mwana wa muntu
yandyetaaze
kugenda mu
kifo ekifaanana
bwe kityo.


Nywa ku kifaananyi okuwanula ekifaananyi ekijjuvu oba PDF.


Ebikolwa bya Nabbi.

(PDFs)

The Pillar of Fire.

(PDF Olungereeza)

Katonda Yeekweka
Yennyini Mu
Binyoomebwa...

(PDF)

Okufumbiriganwa
N’okwawukana.

(PDF)

William Branham
Life Story.

(PDF Olungereeza)

How the Angel came
to me.

(PDF Olungereeza)


Ekifo eky'obubaka... Londa olulimi lwo era owanule obubaka obw’obwereere okuva eri Ow’oluganda Branham.