Awatali ssente oba awatali muwendo.

<< jjuuzi

ekiddako >>

  Kigambo Ekiramu series.

Awatali ssente oba awatali muwendo.


William Branham.

Soma akawunti mu...
Awatali ssente oba awatali muwendo.

Isaaya 55:1-3,
Mukale, buli muntu alumiddwa ennyonta, mujje eri amazzi, n'oyo atalina bigula; mujje mugule mulye; weewaawo, mujje, mugule omwenge... amata awatali bigula awatali muwendo. Lwaki okuwaayo ebigula olw 'ebyo ebitali bya kulya ? Lwaki okuteganira ebyo ebitakkutibwa mumpulirire ddala nze, mulye ebirungi, n'obulamu bwammwe busanyukire amasavu. Mutege amatu gammwe, mujje gye ndi; muwulire, n'obulamu bwammwe bunaaba bulamu: nange naalagaana endagaano etaliggwaawo, kwe kusaasira kwa Dawudi okw'enkalakkalira.

Njagala kwogera gye muli, mu kaseera katono, ku ky'okuyigako ekigamba nti: Awatali ssente oba awatali muwendo.

Waliwo ebintu bingi ebibeesabeesa mu nnaku zaffe. Waliwo bingi ebisobola okusendasenda abantu eri ekyo kye tuyita "amasanyu," era nga kya bantu bonna, eri emirembe gyonna. Waliwo ebisendasenda eby' ekivubuka, enzina ey' omulembe n' obubaga obw'amazina ag'okwejeeguula, n'ennyimba ze balina ezo ezigenderako. Kati ebyo byonna kwe kusendasenda, okw'okukubeesabeesa. Sifaayo oba omwana akuziddwa bulungi atya mu maka, na ngeri ki gy'ayigiriziddwamu kuba na mpisa nnungi; singa omwana oyo takkiriza bumanyirivu bwa kuzaalibwa gwakubiri, ennyimba ez'okwejeeguula zijja ku musikiriza mangu nga yaakaziwulira. Kubanga, muli munda, olw'obutonde, zaazaalirwa mu ye, omwoyo gw'ensi. Era amaanyi ga Setaani ga kitalo nnyo, leero, ne kiba nti gakwata n'omutima gw'omwana oyo omuto.

Kati olwo, gunaakikola kwe nkana wa eri omukulu, oyo agaanye okuzaalibwaogwokubiri! Kubanga, okuggyako ng'obulamubwobukyusibwa era n' okyuka n' ozaalibwa ogwokubiri, mu bwakabaka bwa Katonda; obutonde bwo bujja kusigala nga buli mu bintu bya nsi, sifaayo oli mukkiriza kwenkana wa okuggyako ng'ekyo mu ggwe kikyusiddwa. Osobola okusinza n'obeera Omukkiriza, naye era ekyo kijja kusigala nga kirina engeri y'amaanyi mu ggwe agakusika, kubanga omuntu ono ow'edda ow'ekibi n'okwegomba kwe mu ggwe tannafa. Naye k' oleka Kristo n' atwala nnamulondo mu mutima gwo, ebintu ebyo tebitawaana. Kiba kibisusseeko.

Erinnya ly'omusajja sisobola kulyogera, kuba sisobola kulijjukira kati, naye bangi ku mmwe mujja kumujjukira. Bagamba nti waaliwo ekizinga abasajja gye baateegeranga, mu nsiko, olwo abakazi rie bavaayo, ngabayimba. Era ennyimba zaabwe zaasamaalirizanga nnyo, ne kiba nti abalunnyanja abaabeeranga bayitawo, mu byombo, nga bakyama. Kati olwo ng'abaserikale abaateeze mu nsiko nga-nga bazinduukiriza abalunnyanja bano nga tebeetegese, ne babasanjaga. Kati ne wabaawo omusajja omu ow'ekitalo eyayagala okuyitawo. Kati abalunnyanja be baali balina okumusibira ku mulongooti gw'ekyombo, kati-kati-ne babaako kye baamussa mukamwa, aleme okuleekaana; era-era ne babako bye bassa mu matu g'abalunnyanja be, baleme okuwulira, basomoke, nga tebawulidde. Kati abakazi ne bavaayo, nga bazina era-nga baleekaana, n'okuyimba. Kaakati, oh, kyali kiyitirivu, n'okutuusa lwe yasumulula eddiba eryali mu kiwato kye, nga bw'aleekaana eri abalunnyanja be, "Mujje! Mujje!" Naye nga tebasobola kumuwulira, kubanga amatu baali bagazibikidde.

Kati olwo n'asomoka okutuuka mu kifo we baali balina okumuggyirako obukookolo bwe, oba okumusumululira emikono gye, era nga yalina okuggyamu bye baateeka mu matu gaabwe. Bw'atyo, bwe yali ng'atambula mu luguudo, n'awulira omuyimbi eyali ow'ekitalo ennyo okusinga bali be yali awulidde eri, ne kiba nti bwe yali addayo, ne bamubuuza, "Ai, omutambuze ow'ekitalo, tunaakusiba nate era ku nkondo y'omulongooti?" N'addamu, "Nedda, temunsiba. Nnina kye mpulidde eky'ekitalo ekisinga, ne kiba nti ebyo tebikyaddamu kuntawaanya n'akatono." Bwe kityo bwe kibeera eri omukulistaayo azaaliddwa ogwokubiri. Abeera azudde ekintu eky'ekitalo ekisinga amazina ag'okwejeeguula n'okubeesabeesa kw'ensi eno. Ono abeesebwabeesebwa na Mwoyo Mutukuvu. Asingira ddala nnyo, ne kiba nti n'ensi ebeera yafa gyali.

Naye bw'ogenda mu kubeesebwabeebwa kuno okw'ekikopi, jjukira nti obeera olina okusaasaanya ssente nnyingi nnyo. Omuvubuka atwala omuwala muganzi we mu mazina ne mu bubaga buno, mu ngeri eyo, abeera alina okusasula ekisinga ku nfuna ye eya buli wiiki. So nga n'abakadde abagezaako okunoonya amasanyu nga bagenda mu birabo by'omwenge, mbu banywe okwemalako ennaku gye bafunye mu wiiki, babeera balina okusasula ssente mpitirivu. Ye ate kiki kye bafunayo? Teri kirala okuggyako ennaku ensa.

Kati jjukira, luliba olwo n' okyanukuliraeri Katonda. "Era empeera y' ekibi kwe kufa." Mu byo, tolina ky'oyinza kuggyamu wano ku nsi. Biyenzeyenze bya bulimba. Okunywa omwenge kwongera nnaku yokka. N'ekibi kyongera kufa ku kufa. Enkomerero yo olyesanga oyawukanidde ddala ku Katonda, ng'oli mu nnyanja ey'omuliro, ey'olubeerera. Era mpaawo ky'ofuna wabula okufiirwa. Kati awo Katonda wajjira n' abuuza ekibuuzo, "Lwaki okwonoona ssente zo olw'ebyo ebitakkutibwa? Lwaki mukikola?" Kiki ekireetera omuntu okukikola? Basaasaanya buli kamu ke baba bafunye, buli ke basobola okuyingiza, nga bagula omwenge, okukyakaza abakazi be bagenda nabo, oba engeri yonna, ey'amaddu g'amasanyu g'ensi eno. Naye Bayibuli etugambye, era n'etukubiriza okujja eri Katonda, "N'okugula essanyu eritaggwaawo n'obulamu obutaggwaawo, awatali ssente awatali muwendo."

Ebintu ebyo tebikkusa, n'enkomerero yaabyo kwe kufa okutaggwaawo. So nga bikutwalako ssente zonna z'obeera okunngaanyizza, okubeera eow'ekitalo oba kazannyirizi, oba omulenzi kajajjatta, oba engeri yonna gy'oyinza okubaamu, oba omuwala ow'ettutumu, oba ekintu kyonna. Ekyo okukikola, kikutwalako zonna z'osobola okukunngaanya. Okwambala mu ngeri y'okwambala esingayo, n'o-era n'okukola ebintu ebyo ensi byekola, ky'ofunamu kyokka kwe kwekanga ng'oli mu musango ogutaggwaawo.

Olwo, Katonda n'abuuza, "Lwaki?" Tulyogera tutya ku lunaku olw'omusango, bwe tuliba nga tubuuziddwa lwaki ekyo twakikola? Tuliyinza kwanukula ki? America ya leero eriyinza kwanukula ki, eyo eyeeyita eggwanga ekkulirisitaayo? Era nga ssente nnyingi ezisaasaanyibwa ku mwenge, mu mwaka, okusinga ezo ezisaasaanyizibwa ku mmeere. "Lwaki wayonoona ssente zo olw'ebintu eby'engeri eyo?" So nga, gavumenti eyinza okukusindika mu kabulamuliro, olwa ddoola ttaano ez'omusolo okuva mu kibiina ekimu oba oli awo ezitaakunngaanyizibwa bulungi okusobola okuziggyako omusolo, bwe baali nga baweereza ababuulizi b'enjiri emitala w'amayanja. Olunaku lumu tulikyanukulira, "Lwaki ekyo wakikola?"

Tuli ggwanga kkulisitaayo, era buwumbi na buwumbi bwe buweebwa mu bantu abo, be tugezaako okukolako omukwano. Kaakati nno bazizize. Y'ensonga lwaki Krushchev yagamba, "Bwe kiba nti Katonda gyali, ajja kuddamu okugogola olubiri lwe." Abakaafiiri okusobola okwogera batyo, kituweebuula. Nga kyennyamiza! So nga tweyita Bakulisitaayo. Katonda yagamba, "Mujje, mugule obulamu obutaggwaawo; awatali ssente, awatali muwendo." Obulamu, obw'okubeerera olubeerera, era ne tubugaana ne tumusekerera. Tulikola tutya ku lunaku olwo? Kiriba kitya? Singa Mukama atuwa ebintu eby'okukola, era n'atuwa n'essente, n'atufuula eggwanga erisingayo obugagga wansi w'eggulu, kati olwo Katonda agenda kutubuuza kye twazikozesa. Lwaki okwonoona ssente zaffe mu bintu ebitakkutibwa? Si eri eggwanga kyokka, naye ekyo kigenda n'eri buli ssekinnoomu; okuva ku ziwaafu, okutuukira ddala ku bukadde bwa ddoola, buli omu ze yaweebwa.

Abantu bali mu kuttinngana. Ebbanga si ddene nasoma mu mawulire, awaali abavubuka ababiri abaali bakola mu kifo eyo awayiggirwa. Omu yalina abaana batano, ate ng'omulala alina babiri. Kati omu yalina okuwummuzibwa ku mulimu. Kati oyo omulenzi eyalina abaana ababiri, manya ow'abaana abataano, yawulira nga ye yeetaaga okusigala ku mulimu okusinga oli ow'abaana ababiri; kati bwe yagenda naye okuyigga, n'amulasa ekyasi mu mugongo. Sente, eggwanga bwe lityo bwe liri, eyo y' engeri abantu gye bawuliramu, ekyo ky'ekika ky'omwoyo ogufuga abantu. Kati awo w'olabira obwetaavu bw'okuzaalibwa ogwokubiri nga bwe kuli. "Oteekeddwa okuzaalibwa ogwokubiri." Bwe kirina okuba. "Mujje gyendi, mugule awatali ssente." Toyinza kugamba, "Saalina ssente." Teweetaaga ssente yonna. Kikuweebwa buwa.

Soma akawunti mu...
Awatali ssente oba awatali muwendo.


Nywa ku kifaananyi okuwanula ekifaananyi ekijjuvu oba PDF.


Ebikolwa bya Nabbi.

(PDFs)

Essuula 11
Ekire.

(PDF)

Mpagi y'omuliro.

Bire eby'eggulu.

William Branham Life
Story.

(PDF Olungereza)

Pearry Green personal
testimony.

(PDF Olungereza)

Ekyama kya Kristo.
Series

Omukutu
gw'amawulire
mu Olungereza.

Olusozi Sinaayi. Meriba.

Okubikkulirwa.
Series.

Enjiri ya Yesu Kristo.

Yesu yafiirira ebibi byo.

Okubatiza mu mazzi.

 

Ebikolwa bya nnabbi.

 

Ekitiibwa kya
Katonda (Shekinah).

Okukwakkulibwa.

Katonda ne Sayansi.
Sodoma ne Ggomola.

Bire eby'eggulu.

Empagi y’omuliro.

Okuzuukira series.

Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa.

Eryato lya Nuuwa.

 

Enjigiriza enkulu
mu bubaka.

Oyo Eyakulembera.

Katonda gwe Musana.

Okubikkulirwa kwa
Yesu Kristo.

Kigambo Ekiramu
series.

Kiseera eky’Enkomerero.

Obubonero Omusanvu.

Katonda n’Ebyafaayo
series Index. Danyeri.

Okutambula kw’Ekikristaayo.

Omuti Ogw’Obulamu.
Ezzadde ly'Omusota.

Ensinza ya Mwana
ne Nnyina.

Omukazi oyo
Yezeberi.

Enjigiriza ya
Banikolayiti.

Malayika Alabika.

Yakakasizza kya
Nnabbi.

Enjigiriza ya Balamu.

 

Okwolesebwa okw’oku
kizinga Patumo.

Kristo Ebweru w’Ekkanisa.

 

Obubaka eri Omulembe
gwa Lawodikiya.
Okufumbiriganwa
n’okwawukana.

Okufa.
Leka ntunule okusukka
Olutimbe lw'ebiseera.

Oluganda Omubaka.

  Bayibuli egamba...

Naye ku lunaku olw'enkomerero, lwe lukulu olw'embaga, Yesu yayimirira n'ayogerera waggulu, n'agamba nti Omuntu bw'alumwa ennyonta, ajje gye ndi anywe.

Akkiriza nze, ng'ekyawandiikibwa bwe kigamba nti emigga gy'amazzi amalamu girifuluma mu lubuto lwe.

Ekyo yakyogera ku Mwoyo, gwe baali bagenda okuweebwa abamukkiriza; kubanga Omwoyo yali tannaba kugabibwa; kubanga Yesu yali tannaba kugulumizibwa.

Yokaana 7:37-39



Ekifo eky'obubaka... Londa olulimi lwo era owanule obubaka obw’obwereere okuva eri Ow’oluganda Branham.