Yesu Kristo omulundi ogw'okubiri.

<< jjuuzi

ekiddako >>

  Kiseera eky’enkomerero.

Okuvunaana.


William Branham.

Soma akawunti mu...
Okuvunaana.

Kale kaakati, olwa leero, njagala okusomayo Ekyawandiikibwa, eddakiika emu, okuva mu Kigambo kya Katonda Ekitukuvu, kisangibwa mu Kitabo kya Lukka Omutukuvu. Essuula ey'a 23 mu Mutukuvu Lukka, okukola omusingi, okufuna awasinziirwa ku kye nja-njagala okwogera, ekirowoozo ekitandikirwako ku kintu kye njagala okwogerako. Kaakati mubikkula mu Mutukuvu Lukka, essuula ey'a 23, njagala nsomeyo olunyiriri lumu. Kye ekyo kyokka kye njagala olw'omusingi guno enkya ya leero, kwe mba nkiteeka. Kaakati tusoma olw'a 20... essuula ey'a 23, olunyiriri 33 olw'essuula ey'a 23.

Awo bwe baatuuka mu kifo, ekiyitibwa Kiwanga, ne bamukomererera awo, na bali abaakola obubi, ou ku mukono ogwa ddyo, omulala ku mukono ogwa kkono.

Kaakati omwo njagala okujjamu ebigambo bina, mu ebyo bye tusomye, gubeere omusingi kwe nteeka bye njagala okwogera nti, “Awo Oyo we baamukomererera,” ebigambo bina. Kale kaakati ekyokuyigako kyange kiyitibwa... Ndeeta okuvunaana amakanisa g'ebibiina by'amadiini eby'ennaku zino, n'ebirala bingi nnyo ebya bannampawengwa, olw'okuddamu okukomerera Kristo mu nnaku zino. Mbavunaana! Enkya ya leero, buyitibwa Okuvunaana.

Njagala mbeeko engeri gye nkikolamu nga kiringa ekisenge kya kkooti, awaali... Ye ate oba,ekituuti n'ekkanisa, ebyo ye kkooti. Baibuli egamba nti, “Ntebe ya musango, era nti-nti kirina kutandikira mu Nnyumba ya Mukama” Era kino kiri nga entebe n'aba-n'abaseesa, n'abajulizi, n'abalala. Era olwa leero, nina, Ekigambo kya Katonda nga ye Mujulizi. Era okuvunaana kwange kuli ku makanisa g'ennaku zino. Kaakati nde-ndeeta omwonoonyi mmuleeta mu kino; njogera eri kkanisa eno. Era bi-bigenda kuba ku-ku ntambi kaakati, era nja kugezaako okwanguwa nga bwe nsobola.

Nvunaana omulembe guno olw'okukomerera Yesu Kristo omulundi ogw'okubiri.

Kale kaakati kino okukikola mu mulembe guno gwe tulimu, kino nki-nkikola, nteekwa okulaga ekizibiti oba obukakafu bw'omusango oguzziddwa. Nina-nteekwa okubavunaana, ni-nina okuleeta obu-obujulizi okugukakasa, nti bwe guli, nti bye njogera bigenda kunywera mu maaso g'Omulamuzi Omukulu. Nga mu ekyo leka mbeere nga puliida oku... mu kuvunaana kuno. Nti, Ekigambo kya Katonda, nga ye mujulizi wange, nvunaana omulembe guno olw'okukomerera.

Nteekwa okulaga, era nja kulaga, nti omwoyo gwe gumu ogwaleeta okukomerera okwasooka gwe guli ku bantu, era guli mu kukola ekintu kye kimu. Nte-nteekwa ekyo okukikola, bwe kiba nti kugenda kuba kukomerera, nti bakomeredde. Nteekwa aba-abantu okubalaga nti engeri abantu gye batwalamu ebintu ennaku zino, mu mwoyo, y'engeri y'emu gye baabitwalamu mu mubiri mu biro ebyo. Baakomerera, mu mubiri, Yesu Kristo, Omwana wa Katonda.

Era kaakati, nga nkozesa Ekigambo kye kimu, nga nkozesa Omwoyo O-Omutukuvu ye omu n'Ekigambo kye kimu, njagala okulaga amakanisa eyo nti mu nnaku zino bali mu kukola ekintu kye kimu, era Baibuli yagamba nti bagenda kukikola, era nkakase nti lwe lunaku luno lwe tulimu. Tekyandisobose kukolebwa emyaka mitono egiyise. Kye amba nti, emyaka ataano egiyise kyandibadde tekisoboka kukolebwa, naye olwa leero kye kiseera kyennyini. Ob'olyawo emyaka kkumi emabega, naye leero kisoboka okukolebwa, kubanga obu-obudde buweddeyo. Tuli-tuli mu biseera bya nkomerero. Era nzikiriza, nga omuweereza We, nti tuli-tunaatera okusomoka okuva mu nsi eno, okugenda mu Ndala.

N'olwekyo, obudde bw'eggwanga, okwenenya, buyise. Nkakasa nti eggwanga lino terisobola kwenenya. Nkakasa nti eggwanga lino limaze okusala omusittale oguli wakati w'ekisa n'omusango. Nkakasa nti eggwanga lino litagalira mu minzaani.

“Owoluganda Branham, nga tonnatandika musango gwo, ebyo ogenda kubikakasa otya? Kiikino, nti tuzizza omusango gwe gumu ogwamuviirako okuzikiriza ensi yonna eyaliwo nga amataba tegannabaawo. Tusingiddwa omusango lwa bibi bye bimu ebyamuviirako okuzikiriza Sodoma ne Gomola. Era, kaakati, tulina ebizibiti bye bimu eby'omwoyo biri mu maaso gaffe, obukakafu bwonna nga bwe bumu, obumanyiddwa wonna mu nsi obwaleeta ekisa kya Katonda ku mirembe egyo. N'okuba nti okugaana ekisa ekyo, kyaleeta okusalirwa omusango. N'olwekyo guno omulembe bwe guba gugaanye ekisa kye kimu kye baagaana mu biro ebyo, Katonda taba mwenkanya okubaleka nga tebasaliddwa musango.

Kaakati, tukimanyi nti mu mwoyo olwa leero bakola ekintu kye kimu, kubanga nabo bali mu kukikola, lwa kigendererwa kye kimu, era mu ngeri y'emu nga mu mubiri, bwe baakola mu kukomerera Mukama. Bakikola lwa bujja, lwa kuba be bamuzibe mu mwoyo. Ekyo, tebaagala kukiraba. Tebajja Ekyo kukikkiriza. Yesu, mu lugendo Lwe wano ku nsi, Yagamba nti, “Kale Isaaya yaboogerako nti, 'Mulina amaaso naye temulaba, amatu naye temuwulira.'” Okiraba?

Ensonga y'emu, ekigendererwa kye-kye kimu n'enjogera okukiwagira y'emu, bali mu kuleeta Kukomerera kupya, nate, (nga bwe tugenda okukifuna oluvannyumako), lwa nsonga ze zimu ze baalina ku olwo. Tebayinza Ekyo kukisangako kikyamu kyonna. Tebasobola kweanga kukisoomoza. Era bamanyi nti obujulizi weebuli. Era bamanyi nga Baibuli bw'etyo bw'egamba. Kye bayinza okukikola kyokka Ekyo kwe kukivvoola. Kye ekyo kyennyini. N'olwekyo, na bino byonna, nsonga ze zimu.

Kale, kaakati, ku musingi guno, nsoomoza omulembe guno olw'okukomerera Yesu Krsito; okukomerera, era balina omusango; n'emikono gy'eddiini emicaafu, emyonoonyi, abeeyagaliza bokka, bakomeredde Omulangira w'Obulamu abadde ayagala okweyaayo eri abantu. Obuuza nti, “Omuntu ye omu?” “Ku lubereberye waaliwo Kigambo, Kigambo n'Aba awali Katonda. Kigambo n'Afuuka omubiri, ne Yeeyoleka.” Ekigambo ne kirabisibwa mu mubiri, omubiri ne bagusalira omusango ne bagutta, olw'okubanga Ekigambo kyalabisibwa. Abaebbulaniya 13:8, kigamba nti, “Yesu Kristo ye omu jjo, leero n'emirembe gyonna.” Kigambo kye kimu. Olaba? Era, lwa nsonga ze zimu, bali mu kugezaako Ekigambo okukikomerera.

Kaakati, eky'okuyigako kyange, okumenyaamenya essomo lye njagala okukwatako awo, ebigambo ebina. Leka tunnyonnyole, “awo.” “Awo,” ekibuga ekisingayo obutukuvu mu nsi yonna, Yerusaalemi. “Awo,” ekibuga ekisingayo mu nsi yonna okuba ekitukuvu. Awo,“abo,” abantu abasingayo mu nsi yonna okuba abanaddiini, ku mbaga ey'eddiini, embaga ey'Okuyitako. “Awo,” awantu wennyini awasingayo okuba aw'eddiini, ekibuga ekisingayo okuba eky'eddiini, mu bibiina byonna mu nsi kye kisingayo okuba ekikulu, kye kikulira byonna. Awo, “abo,” mu nsi yonna abantu abasingayo okuba abanaddiini, baali bakuŋŋaanye okuva wonna mu nsi. Ne “bakomerera,” okufa okusingirayo ddala okuba okw'ensonyi, okutta, omuntu yenna kwe yali ayiseemu; ng'ali bwereere, ayambuddwaamu engoye Ze. “Ya- yanyooma ekivume ekyo.” Baa... Omusaalaba ogwaleero guliko aka- aka- akagoye akamuzingiriddwaako; wabula baamwambulako engoye Ze zonna. Ekisingayo okuba eky'ensonyi!

“Awo,” ekibuga ekisingayo okuba ekinnaddiini, “bo,” abantu abasingayo okuba abannadiini, “baamukomerera,” okufa okusingayo okuba okw'ensonyi, “Oyo,” Omuntu Asingayo okuba ow'omuwendo. Oba ebyo tebimala kunenya mulembe guno!

“Awo,” ekibiina ekisingayo okuba ekinnaddiini, amakanisa agasingayo okuba amanene gaali gakuaanidde mu kifo ekyo. “Abo,” ekika ky'abantu ekisingirayo ddala okuba ekinnaddiini, abantu abateekeddwa okuba abasinza bennyini aba Katonda. Baakuaanira ku mbaga esingirayo ddala mu ze baalina, okulongoosa kwa... Okuyitako, bwe bajjibwa mu busibe ne baleetebwa mu ddembe. Kale “awo” mu kiseera ekyo, “bo” mu kiseera ekyo, abantu abasingirayo ddala okuba abannaddiini, mu mbaga esingirayo ddala okuba ey'eddiini, mu kifo ekisingirayo ddala okuba eky'eddiiini, ne baleeta ku Mulangira w'Obulamu okufa okusingirayo ddala okuba okw'ensonyi nga kwe kwambulamu Omuntu engoye ne bamuwanika ku muti. Kubanga “akolimiddwa oyo,” bwe lityo etteeka bwe ligamba mwe baasinzizanga nti, “Akolimiddwa oyo awanikibwa ku muti.” “Era yafuulibwa ekikolimo gye tuli.” Okumwambulamu engoye Oyo, okumukuba Oyo, n'okumukudaalira Oyo, Katonda Yennyini ow'Eggulu; Oyo okumujjamu engoye Ze, ne bamukomerera ku musaalaba, Oyo! “Awo we baamukomererera Oyo,” wansi w'ekibonerezo kya Roma ekisingayo okuba eky'obukambwe.

Okufa okwandisinzeeyo okuba okw'ensonyi olwa leero tekwandibadde kukubwa kyasi. Okufa okwandisinzeeyo okuba okw'ensonyi olwa leero si kulinnyibwa motoka n'ekutta, si kubbira mu mazzi, okwokebwa omuliro. Naye okufa okusingirayo ddala okuba okw'ensonyi, kuba kuttibwa mu lujjudde ekibonerezo eky'oku ntikko, ensi yonna bw'ekunenya n'ekusalira omusango nti gukusinze.

Ensi yonna Omusajja ono yamuteekako emikono n'egamba mbunno gwamusinga, so nga teyalina musango. Era Yaafiira wansi wa mulabe (si mikwano Gye, si mateeka Ge), wabula wansi wa kukomererwa nga kwakolebwa mulabe. Omulangira w'Obulamu, Omuntu eyali asingayo okuba ow'omuwendo eyali abaddewo, oba mu bonna abalibaawo, Yesu Kristo. “Oyo,” Omuntu Asingirayo ddala okuba ow'omuwendo! Ekyo mukiteeke mu mitima gyammwe kaakati nga tuzimba akadaala ako olwa leero.

-----
Kaakati ebigambo ebyo ebina, bo, “Awo We baamukomerera Oyo.” Kaakati, labayo, okyalaga Baibuli. Bigambo bina byokka, wabula Baibuli ewumbawumba Amazima gaayo. Kaakati, nze, nina okwetooloola ne nnyinyonnyola bye njogerako, naye yo Baibuli tekigyetaagisa kunnyonnyola. Gonna Mazima meereere, n'olwekyo yo Baibuli te- te- terina kunnyonnyola kintu kyonna. Teki-tekigyetaagisa kukinnyonnyola, kubanga yonna Mazima meereere.

Biibino wano ebigambo bina eby'olujegere lw'Amazima gaakyo olunene. Nja kugezaako okulunnyonnyola Olwo. Era okulunnyonnyola, mu bulambulukufu, kiba kyetaagisa tterekero ddamba ery'ebitabo. Sirinaawo ngeri yonna ya kunnyonnyola bigambo ebyo ebina. Naye kaakati, Oyo Eyagiwandiikisa, leka tugezeeko okunnyonnyola ebigambo bino ebina, okukireeta mu ngeri abantu gye banaakitegeeramu. Kye tulina mu maaso gaffe kaakati, tulina okukomerera okwasooka mu maaso gaffe; mu kifo ekisingayo obutukuvu, abantu abasingayo okuba abanaddiini, okufa okusingayo okuba okw'ensonyi, ku Muntu asingayo okuba ow'omuwendo. Oh, kintu ekikontana ekiyitirivu. Owange, ha bannange, kisuffu okuba eky'ensonyi!

-----
Wekkaanye, “abo,” abasinza; abantu abaalinga banoonya ekisuubizo, abantu abaali bakinoonyezza, okumala emyaka n'emyaka,nga tebalina na bye bakola okujjako okubeeranga mu zisseminaliyo olubeerera. Naye Ekigambo baali bakyawuddeyawudde okusinziira ku njigiriza za sseminaaliyo, era Amazima gaakyo gennyini baali bagayiseeko. “Abo,” bakabona, obuweereza obwaliwo mu biseera ebyo! “Awo,” ku bitebe byabwe ebikulu, “abo,” obuweereza bw'ebiseera ebyo, be baali batta Katonda yennyini, Akaliga kennyini. Oyo Yennyini gwe beekwasa mbu gwe baali basinza, ate gwe baali batta.

Era, olwa leero, nvunaana ekibinja ky'abaweereza kino abaawule, mu biyiiye byabwe ne mu bibiina by'amadiini, bali mu kukomerera, eri abantu, Katonda Yennyini gwe bagamba mbu bamwagala mbu era bamuweereza. Nvunaana abaweereza bano, mu Linnya erya Yesu Kristo, ku njigiriza yaabwe, egamba nti, “ennaku z'eby'amagero zaayita,” mbu era “okubatiza mu Linnya lya Yesu Kristo tekumalanti era si kutuufu.” Ku Bigambo bino byonna, bye bagyeewo ne bazzaawo ebiyiiye, mbavunaana, nti bazizza omusango, era Omusaayi gwa Yesu Kristo guli ku mikono gyabwe, olw'okuddamu okukomerera Mukama Yesu, eri abantu mu lujjudde, nga baggya ku bantu ekintu ate kye bandibadde babawa. Ekintu Ekyo ne bakijjawo ne bateekawo ekirala mu kifo kyakyo, ekiyiiye ky'ekkanisa, olw'ettutumu.

-----
Kale ekibiina kye kimu olwa leero nkinenya, era, mbavunaana, nga balina omusango mu maaso ga Katonda, okusinziira ku Kigambo kya Katonda, nti bali mu kukola ekintu kye kimu. Omulembe guno guvunaaniddwa. Mujjukire Abaebbulaniya 13:8 nti, “Ye omu jjo, leero, n'emirembe gyonna.”

Baamuvunaana batya? Kubanga ebikwate byabwe byagaana okumukkiriza, ng'ate munda mu mitima gyabwe mwalingamu bintu byawufu. Nikodemu, mu ssuula ey'o 3 eya Yokaana Omutukuvu teyakiggyaayo bulungi? Labbi, ffe, Abafalisaayo,“ ababuulizi, abayigiriza, ”Tukimanyi nti Oli Muyigiriza Katonda gwe Yatuma, kubanga tewali muntu asobola kukola bintu by'okola nga Katonda Tali naye.“ Olaba? Baakiweera obujulizi mu lujjudde okuyita mu omu ku basajja baabwe omututumufu, era omu... olw'ebiyiiye byabwe, baakomerera Kristo.

N'olwa leero teri musomi atasobola kusoma Bikolwa 2:38 nga nze bwe nkisoma, n'ebirala byonna, nga nze bwe mbisoma. Naye olw'ebikwate byabwe, n'olwa tikiti z'ebibiina byabwe eby'amadiini ze balina mu nsawo zaabwe, obubonero bw'ensolo bwe bayenjeera nabwo nga kaada z'okukuaana; baddira ebintu ebyo ne baddamu okwekomererera Yesu Kristo, ne bamukomererera mu lujjudde, era ne bavvoola Katonda yennyini eyabasuubiza okukola Kino, ne baleeta omusango ku bantu.

Soma akawunti mu... Okuvunaana.


Ekyama kya Kristo.
Series

Omukutu
gw'amawulire
mu Olungereza.

Olusozi Sinaayi. Meriba.

Okubikkulirwa.
Series.

Enjiri ya Yesu Kristo.

Yesu yafiirira ebibi byo.

Okubatiza mu mazzi.

 

Ebikolwa bya nnabbi.

 

Ekitiibwa kya
Katonda (Shekinah).

Okukwakkulibwa.

Katonda ne Sayansi.
Sodoma ne Ggomola.

Bire eby'eggulu.

Empagi y’omuliro.

Okuzuukira series.

Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa.

Eryato lya Nuuwa.

 

Enjigiriza enkulu
mu bubaka.

Oyo Eyakulembera.

Katonda gwe Musana.

Okubikkulirwa kwa
Yesu Kristo.

Kigambo Ekiramu
series.

Kiseera eky’Enkomerero.

Obubonero Omusanvu.

Katonda n’Ebyafaayo
series Index. Danyeri.

Okutambula kw’Ekikristaayo.

Omuti Ogw’Obulamu.
Ezzadde ly'Omusota.

Ensinza ya Mwana
ne Nnyina.

Omukazi oyo
Yezeberi.

Enjigiriza ya
Banikolayiti.

Malayika Alabika.

Yakakasizza kya
Nnabbi.

Enjigiriza ya Balamu.

 

Okwolesebwa okw’oku
kizinga Patumo.

Kristo Ebweru w’Ekkanisa.

 

Obubaka eri Omulembe
gwa Lawodikiya.
Okufumbiriganwa
n’okwawukana.

Okufa.
Leka ntunule okusukka
Olutimbe lw'ebiseera.

Oluganda Omubaka.

  Bayibuli egamba...

Awo bwe baatuuka mu kifo, ekiyitibwa Kiwanga, ne bamukomererera awo, na bali abaakola obubi, ou ku mukono ogwa ddyo, omulala ku mukono ogwa kkono.

Lukka 23:33


Nywa ku kifaananyi okuwanula ekifaananyi ekijjuvu oba PDF.


Ebikolwa bya Nabbi.

(PDFs)

Essuula 11
Ekire.

(PDF)

Essuula 14
- Sabino Canyon

(PDF)
Ekitala gye kyalabika.

Kano ke kabonero
k’enkomerero, ssebo?

(PDF)
Olusozi Enjuba Egwa.
Ekire gye kyalabika.

Nvunaana
omulembe guno
olw'okukomerera
Yesu Kristo
omulundi
ogw'okubiri.



Ekifo eky'obubaka... Londa olulimi lwo era owanule obubaka obw’obwereere okuva eri Ow’oluganda Branham.