Lwaki Omwoyo Omutukuvu yaweebwa?

<< jjuuzi

ekiddako >>

  Okumufuukira abaana series.

Katonda Ali mu Kkanisa.


William Branham.

Soma akawunti mu...
Lwaki Omwoyo Omutukuvu yaweebwa?.

Yokaana 14:26,
Naye Omubeezi, Omwoyo Omutukuvu, Kitange gw'alituma mu linnya lyange, oyo alibayigiriza byonna, alibajjukiza byonna bye nnabagamba.

Ekiro ekyayise twabadde twogera ku, “kiki ky'ali.” Omwoyo Omutukuvu kye ki? Era ne tusanga ng'Ali buli kintu kyonna, Katonda kye Yatusuubiza. Uh-huh. Mu Ye twazuula ebyo byennyini ekkanisa ya Katonda bye yandibadde yetaaga. Twamuzuula okubeera nga Ye nvumbo, Omubeezi, Ekiwummulo, era essanyu, emirembe, era n'okuzuukira. Na buli kintu kyonna Katonda kye yasuubiza ekkanisa Ye, kisangibwa mu Mwoyo Mutukuvu.

-----
Kati, era enkya... Ekiro kya leero tusomesa ku: Kyali kigendererwa ki Katonda okutuma Omwoyo Omutukuvu? Waaki? Bwe kibeera nga kintu eky'ekitalo bwe kityo, kale lwaki Katonda yamuweereza? Olwo, enkya ekiro, twagala okwogera ku: Ye wuwo? era omufuna otya? Era omanya otya ng'omufunye?.

-----
Kaakati, ekigendererwa kya Katonda, kyali-kyali kiki okutuweereza Omwoyo Omutukuvu? Kaakati, ekyo nnyinza okukiwandiika wano, Yokaana 14, okutandika n'olunyiriri olwe 14, n'osoma okumalako essuula yonna, olw'omusingi. Ekigendererwa kya Katonda,tukizuula wano, ekyamusindisa Omwoyo Omutukuvu, kyali kigendererwa kimu, nti Katonda yennyini asobole okutuula mu Kkanisa Ye era n'enteekateeka Ze zisobole okweyongerayo mu maaso mu Kkanisa. Nti, Katonda yali mu Kristo, ng'Ayongerayo enteekateeka Ze okuyita mu Kristo; okuva mu Kristo, okudda mu Kkanisa, ng'Ayongerayo emirimu Gye okuyita mu Kkanisa.

Kaakati, tumanyi kiki Omwoyo Omutukuvu ky'Ali. Ekyo twakizudde, ekiro ekyayise, nti Ye Katonda. Kaakati bwe tulowooza ku Katonda, taata, nga Yesu bwe yayogera wano, Kitaawe; Katonda, Omwana, nga Ye Yesu; Katonda, Omwoyo Omutukuvu, nga bwe tukiyita leero. Kaakati, ekyo tekitegeeza nti waliwo abantu basatu, ba Katonda ab'enjawulo. Kitegeeza nti waliwo Katonda omu mu wooffiisi ssatu.

Leka tukyogere bwe tuti. Kyonna Katonda kye Yali, Yakifuka mu Kristo, kubanga yeekaliza Yennyini n'akifuka kyonna mu Kristo. “Ne Kristo ye yali Obulamba bwa Katonda mu Mubiri.” Yakuwa kye yali kyonna, Yakifuka mu Kristo. Ne Kristo kyonna kye yali, Yakifuka mu Kkanisa; so si mu muntu ssekinoomu, naye mu Mubiri gwonna. Awo, we tujjira ffenna mu bumu, nga tulina amaanyi. Kyonna Katonda kye yali, kyali mu Kristo; ate ne Kristo kyonna kye yali, kiri mu mmwe. “Kubanga Katonda Yafuuka omubiri, n'abeera gye tuli.” Timoseewo Ekisooka 3:16, bw'oba ng'owandiika, “Era awatali kubuusabuusa ekyama eky'okutya Katonda kye kikulu: Katonda yalabisibwa mu mubiri, ne tumukwatako. Katonda Yakuwa, ng'Ayambadde omubiri, n'Atambulira ku nsi, ne tumulaba n'amaaso gaffe.”

Era mumanyi nga mu ssuula y'emu eya Yokaana 14, Firipo yagamba nti, “Mukama waffe, tulage Kitaffe, kale kinaatumala.” Yesu n'amugamba nti, “Kasookedde mbeera nammwe, ebiro ebingi bwe bityo, era tontegeeranga, Firipo? Alabye ku nze, ng'alabye ku Kitange; kiki ekikuambiza ggwe nti, 'Tulage Kitaffe'? Katonda Yafuuka omubiri.

Kati Kiikino wano. Taata ye yali Katonda waggulu wammwe, bwe tugamba. Bwe tubaddenga okuviira ddala ku Adamu. Katonda, Taata, yali waggulu wa Musa n'abaana ba Isiraeri, mu Mpagi ey'Omuliro. Olwo, Katonda nga ali naffe, mu Kristo; n'atambula awamu naffe, n'ayogera naffe, n'alya awamu naffe, ne yeebaka awamu naffe. Katonda waggulu waffe; Katonda nga ali naffe, era kati leero Katonda mu ffe. Kyonna Katonda kye yali, kyajja mu Kristo; kyonna Kristo kye yali, kyajja mu Kkanisa. Kiki ekyo? Katonda ng'akolera mu ggwe. Buli wantu wonna mu nsi we yandyagadde okukuyitira, wennyini w'obeera, ng'akolera mu ggwe okukola okwagala kwe okulungi. Nga tuteekeddwa okwebaza ennyo Katonda olw'ekyo! Katonda, Omwoyo Omutukuvu, asindikiddwa n'ekigendererwa Katonda asobole okutuula mu Kkanisa Ye, ng'Ayita mu buli mulembe, nga bw'akola okwagala okw'Obwakatonda Bwe.

-----
Ne Katonda bwe yakola bw'atyo, yagoberera amateeka Ge Ye. Katonda tasobola kugoberera, kukuwa tteeka lya kugoberera ate Ye n'agoberera eddala. Agoberera amateeka Ge Ye. Olwo, Katonda, okusobola okununula ekkanisa eyali ebuze, ensi eyabula ebuze, obutonde obwali bubuze; Katonda, Oyo ataliiko kkomo mu Mwoyo, okusobola okununula olulyo lw'omuntu, Katonda yennyini yafuuka wa mu lulyo, Omuntu, omwana gwe yatonda mu lubuto lwa Malyamu. Olwo n'Alyoka akola akabonero k'olwatu, oba obujulizi; wabweru w'emiryango gya Yerusaalemi, Yawanikibwa waggulu wakati w'eggulu n'ensi, n'alyoka afa, olwo n'anunula buli kimu. Ng'Atiiriika omusaayi, yatukuza Ekkanisa Ye gye yali asobola okubeeramu, n'akuaana era n'assa ekimu nayo, ekyo ekiseera ky'okussa ekimu ekyali kyabula mu lusuku Adeni, Katonda we Yajjiranga buli kawungeezi, ekiseera ky'ekkanisa.

Wali weetegerezza? Katonda yajjanga mu kiseera eky'empewo eyakawungeezi, ng'enjuba egwa. Waliwo ekibeerawo obudde bwe butandika okuziba, abantu balowooza ku kkanisa ne Katonda; Abakristaayo. Mulaba ng'enjuba egwa, okitegeera nti omusana gwo gugolooba.

Mu kiseera eky'empewo eyakawungeezi, Yajjanga okukuaananga nabo. Kale n'Afiirwa okukuaana okwo, kubanga ekibi kyali tekisobola kumuganya kukikola. Awo n'Ayambala omubiri n'abeerako gye tuli, Asobole okudda eri omuntu abeere mu muntu, Azzeewo olukuaana lwe n'omuntu nate, olwo amuddize eddembe eryali lyamuweebwa Katonda. Ekyo kye yakola.

Ekyo ky'ekigendererwa ky'Omwoyo Omutukuvu. Ye Taata, nate, Katonda Kitaffe ng'ali mu ggwe n'Akola enteekateeka Ye, okumaliriza enteekateeka Ze ez'obununuzi; ng'Akolera mu ggwe, ng'Akufuula omukozi awamu Naye; ng'Akuwa ekifo, ng'Akufuula ekitundu ku muganda wo ne mwannyoko eyaggwa, ng'Akuwa Omwoyo We n'okwagala Kwe, okugenda okugenda okuyigga abaabula, nga bwe yakola mu lusuku Adeni. “Adamu, Adamu, oli luuyi wa?” ekyo, Omwoyo Omutukuvu ky'Akola eri omukazi oba omusajja. Bw'atuuka mu mitima gyabwe, n'afunamu obutuuze, mubeeramu enjala n'ennyonta ey'emmeeme ezaabula.

Ekyo ky'ekizibu n'enkuaana leero, Omwoyo tatukutteeko kimala, okugenda okukimayo emmeeme ezaabula n'ezo ezifa. Okwekolera erinnya, oba ekkanisa, oba ekizimbe oba ekibiina ky'eddiini gwe mulimu okusinga enteekateeka ey'okuwangula emmeeme. Nga tuli ba kusaassirwa! Twandisobodde n'okukibeerako akabanga.

-----
Kaakati, mu mulembe guno gwe tulimu, kisusse ne ku Pentekoote. Pentekoote ewummulidde mu bibiina, n'etandika n'okucupula buli kimu nga bw'egamba nti “Tuli kino, tuli kiri.” Ekyo bwe butonde. Tolina bw'oyinza kukiyambamu. Bwe butonde. Bajja kukola ekyo. Y'enteekateeka bo okukola ekyo. Wabula ekkanisa yo yeyongeddeyo. Eyingidde mu kisinga obukulu, eky'Amaanyi. Kwe kuzzibwawo kw'ebirabo. Era bangi ku Bapentekoote tebakkiririza mu kuwonyezebwa kw'obwa Katonda, obuweereza bw'abamalayika, n'amaanyi ga Katonda. Abapentekoote abasinga, okwolesebwa kuno kwe nfuna bakuyita “Setaani.” N'ebibiina ebisinga obungi, kino tekibakwatako yadde akatono mu Pentekoote. Laba, nga tutambudde okusukka ku ekyo. Ng'Abamesodisiti bwe bayita Abapentekoote “abalalu,” olw'okwogera mu nnimi. Era ng'Aba Luther bwe baayita Abamesodisiti “abalalu” olw'okuleekaana, mulaba, Naye byonna bijja lwa Mwoyo Omutukuvu okutuusa ng'Ekkanisa ey'ekitalo ng'ejjuziddwa ate era ng'ewagiddwa amaanyi, Aleruuya, olw'amaanyi ag'ekitalo aga Katonda ayinza byonna. Okutuusiza ddala ng'etuuse mu kifo ng'ebikolwa bya Yesu byennyini birabisibwa mu yo wakati. Tuli kumpi nnyo mikwano.

Ka nnyimirireko wano katono, okusobola okufuna ekyo Katonda kye yatuweera Omwoyo Omutukuvu, ka mbaweeyo ekifaananyi ekirala musobola okutegeera. Tuddeyoko mu Ndagaano Enkadde, omwana bwebwe... Omusajja yeezimbiranga amaka. Neeyefunira Omugole we, ekyo kye kyalinga ekintu ekisookerwako. Olwo n'afuuka omusajja ow'amaanyi ng'ekibiina. Ekyo kyalinga kirungi. Ekintu ekyaddangako okubeerawo, wajjangawo okuzaala mu maka omwo.; olwo Omwoyo Omutukuvu we, labayo ng'Omwoyo omulala gujja mu maka ago nga ye mutabani. Omutabani oyo, teyalinanga buyinza bujjuvu, era nga tasobola na kubeera musika okutuusa ng'awezezza ekigera ky'emyaka ekimu. Ate yalinanga okusooka okugezesebwa. Yee. Kale, baalinanga etteeka ly'okutongozebwa. Eri mmwe abaweereza, “Okuteekebwawo kw'omwana”....

-----
Tonnakyusibwa okutuusa ng'ofunye Omwoyo Omutukuvu. Ekyo bwe kiri. Okkiriza “okutuusa.” Omwoyo Omutukuvu ng'Ayogedde naawe era n'omwatulira mu lujjudde. Ne Setaani alina ekintu ky'ekimu. “Mukkiriza okuba Omwana wa Katonda.” Bw'atyo ne Setaani bw'ali. Kale ggwe otambula okugenda gy'Ali.

Peetero bwe yayitibwa n'atukuzibwa, ng'akkiriza Yesu Kristo; era mu Yokaana 17:17, Yesu yabatukuza okuyita mu Kigambo, kubanga Ekigambo ge gaali Amazima. Ate nga Ye yali Kigambo. Essuula esooka, Yokaana kigamba nti “Ku lubereberye waaliwo Kigambo, Kigambo n'aba awali Katonda, Kigambo n'aba Katonda. Kigamba n'afuuka omubiri n'abeerako gye tuli.” Ye yali Kigambo, olwo n'Abatukuza. N'agamba nti “Kitange,” ng'Ayogera eri Omwoyo ali mu Ye, “Mbatukuza okuyita mu Kigambo,” Yennyini, ng'Abassaako emikono Gye. “Ekigambo kyo ge Mazima.” Eyali yayogerwa obwogerwa n'Abeera mu lubuto lw'omukazi; oo, nga kizibu Ye okubeera ekintu ekirala okusinga Ekigambo kya Katonda okusobola okulabisibwa. “Mbatukuza.”

-----
Kati awo nno, “Emirimu gye nkola Nze.” Katonda Ali mu Kkanisa Ye, okwongerayo emirimu Gye. Eyo y'ensonga lwaki Yatuma Omwoyo Omutukuvu. Ekyo Ye yakimanya. Ye, Yakimanya nga kyali tekijja kukolebwa mu ngeri eyo, ng'okozesa ekintu ekirala, n'olwekyo Yalina okutuma. Taata Yatuma Omwana, n'Amuteekamu byonna... omwana mu ggwe. N'emirimu gyennyini gye Yakola, emirimu gy'egimu Yesu gye Yakola, mmwe muligikola, Ekkanisa.

Mwandyagadde okukola emirimu gya Katonda? Yesu yagamba nti, “Bwe mubeera mwagala okukola emirimu gya Katonda, munzikirize Nze.” Omukkiriza otya? Tosobola na kukikola okutuusa ng'olina Omwoyo Omutukuvu.

Kubanga tewali asobola ku mwogerako ng'Omwana wa Katonda; obeera oyogera omuntu omulala kye yayogera. Baibuli egamba nti Ye Mwana wa Katonda; nzikiriza “Baibuli. Omusumba agamba nti Ye Mwana wa Katonda; nzikiriza omusumba. Ne maama agamba nti Ye Mwana wa Katonda; maama mmukkiriza. Mukwano gwange agamba Ye Mwana wa Katonda; era naye mmukkiriza.” Naye engeri yokka gye nsobola okwogera nti Ye Mwana wa Katonda, ye Mwoyo Mutukuvu bw'Ajja mu nze ne Yeewaako obujulizi, olwo mmanya nti ddala Mwana wa Katonda.

“Teri muntu ayinza okugamba nti Yesu ye 'Kristo' wabula olw'Omwoyo Omutukuvu.” Huh! Teri muntu mu Mwoyo wa Katonda nti Yesu akolimiddwa oba n'agamba nti Yali kirala mu lunaku luli ara n'olwa leero. Olwo ekyo kibeera kimufuula omunafu era ayenjebuse. Nedda, ssebo. Ye y'omu jjo, leero n'emirembe gyonna. Na buli myoyo omutuufu gukijulira ekyo. Ekyo bwe kiri.

-----
Omwoyo Omutukuvu ajja okukuwa Amaanyi. Wano nkyalinawo Ebyawandiikibwa ebirala, mu Ddakiika nga emu. Omwoyo Omutukuvu yajja okukuwa Amaanyi. Nze- Nze sisobola... naawe kino osobola okukyezuulira; nninga ataliiwo ekiro kino. Okukuwa Amaanyi, Amaanyi mu kusaba!

Funa omuntu eyabeera mu bulamu obulungi, naye buli kaseera bawangulwa. “Oo, mbabuulira...” Muntu mulungi, “Oo, mazima, njagala nnyo Mukama, ow'Oluganda Branham.” N'essaala zaabwe teziddibwamu nga buli kaseera bawangulwa. Lumu jjuza omukyala oyo omuto Omwoyo Omutukuvu, olabe kiki ekibaawo. Bw'agenda mu maaso ga Katonda, tawangulwa. Ajja butereevu ku Ntebe ya Katonda, nga akkiriza nga alina olukusa kubanga muwala wa Katonda, olw'Okuzaalibwa. Ate era omusajja oyo omuto, oyo omutiitiizi ennyo, nga Mukamaawe buli kaseera amwekaalisizaako buli wamu. Agamba nti, “Lindako eddakiika.” Waliwo ekintu ekyakyuse, olaba, alina Omwoyo Omutukuvu. Akuwa Amaanyi. Obulamu bwo bubeera bujjude Amaanyi.

-----
Nali nga njogera ku maanyi g'okusaba, Amaanyi g'okwogera, Amaanyi g'obulamu obutukuvu. Amiina. Ekyo Omwoyo ky'alina okukola. Bantu mmwe abatera okutambula nga bwe mugamba nti “Weewaawo nze sisobola kulekayo kunywa mwenge. Era nze kino sisobola na kukivaako.” Omwoyo Omutukuvu ajja kubeera mu ggwe, okukuggyamu bino 'tebisoboka'. Ekyo bwe kiri. Aleetere bakazi obutaddamu kusalako nviiri zaabwe, era balekere awo okwambala ebinu, ne bukacupa. tewaba na kwewolereza. Nga baleseeyo okukola eambo. Oo, yee, kye kyo ekimubeezaawo, kwe kufuula obulamu bwo obutukuvu. Bujja kubeera bugoberera Baibuli buli kaseera.

Omukazi yagamba nti, “Ebbugumu lingi nnyo; kyenva nnina okwambala obwambazi buno. Kinnumya omutwe bwe nkuza enviiri zange.” Kino tekiba kya kwekwasa bw'obeera n'Omwoyo Omutukuvu. Ekimubeezawo kwe kukola ekyo. Ajja kugoberera Ekigambo mu bulamba. Ekyo Omwoyo omutukuvu ky'Alina okukola. Kwe kukusobozesa musajja ggwe okukyusanga omutwe gwo ogujje eri bakazi abambala obukunya, era olekere awo okubaakirako, ne ba mmemba b'ekkanisa. Ekyo ky'Alina okukola.

Soma akawunti mu...
Lwaki Omwoyo Omutukuvu yaweebwa?.


Ekyama kya Kristo.
Series

Omukutu
gw'amawulire
mu Olungereza.

Olusozi Sinaayi. Meriba.

Okubikkulirwa.
Series.

Enjiri ya Yesu Kristo.

Yesu yafiirira ebibi byo.

Okubatiza mu mazzi.

 

Ebikolwa bya nnabbi.

 

Ekitiibwa kya
Katonda (Shekinah).

Okukwakkulibwa.

Katonda ne Sayansi.
Sodoma ne Ggomola.

Bire eby'eggulu.

Empagi y’omuliro.

Okuzuukira series.

Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa.

Eryato lya Nuuwa.

 

Enjigiriza enkulu
mu bubaka.

Oyo Eyakulembera.

Katonda gwe Musana.

Okubikkulirwa kwa
Yesu Kristo.

Kigambo Ekiramu
series.

Kiseera eky’Enkomerero.

Obubonero Omusanvu.

Katonda n’Ebyafaayo
series Index. Danyeri.

Okutambula kw’Ekikristaayo.

Omuti Ogw’Obulamu.
Ezzadde ly'Omusota.

Ensinza ya Mwana
ne Nnyina.

Omukazi oyo
Yezeberi.

Enjigiriza ya
Banikolayiti.

Malayika gye kyalabika.

Yakakasizza kya
Nnabbi.

Enjigiriza ya Balamu.

 

Okwolesebwa okw’oku
kizinga Patumo.

Kristo Ebweru w’Ekkanisa.

 

Obubaka eri Omulembe
gwa Lawodikiya.
Okufumbiriganwa
n’okwawukana.

Okufa.
Leka ntunule okusukka
Olutimbe lw'ebiseera.

Oluganda Omubaka.

  Bayibuli egamba...

Yesu n'addamu n'amugamba nti Omuntu bw'anjagala, anaakwatanga ekigambo kyange: ne Kitange anaamwagalanga, era tunajjanga gy'ali, tunaatuulanga gy'ali.

Atanjagala takwata bigambo byange: n'ekigambo kye muwulira si kyange, naye kya Kitange eyantuma.

Yokaana 14:23-24


Nywa ku kifaananyi okuwanula ekifaananyi ekijjuvu oba PDF.


Ebikolwa bya Nabbi.

(PDFs)

Essuula 11
Ekire.

(PDF)

Essuula 14
- Sabino Canyon

(PDF)
Ekitala gye kyalabika.

Kano Ke Kabonero
K’Enkomerero, Ssebo?

(PDF)
Olusozi Enjuba Egwa.
Ekire gye kyalabika.

Katonda Ali mu
Kkanisa Ye,
okwongerayo emirimu
Gye. Eyo y'ensonga
lwaki Yatuma
Omwoyo Omutukuvu.



Ekifo eky'obubaka... Londa olulimi lwo era owanule obubaka obw’obwereere okuva eri Ow’oluganda Branham.